Amawulire

RDC we Lubaga avudde mu mbeera n'akwata abakulira essomero lya Kitebi Primary school lw'akugaana baana kutuula bigezo olw'ebbanja

RDC we Lubaga avudde mu mbeera n'akwata abakulira essomero lya Kitebi Primary school lw'akugaana baana kutuula bigezo olw'ebbanja

RDC mu ssuuti n'abayizi abammiddwa ebibuuzo ate ku ddyo mu maaso ye Heedimasita Mugaya eyakwatiddwa ate ku kkono ye Florence Kyoshaba akulira ebyenjigiriza e Lubaga
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

AKULIRA essomero lya gavumenti erya Kitebi P/S,  akwatiddwa ne banne abalala babiri, lwa kugaana bayizi abatannamalayo fiizi  okukola ebibuuzo ebimalako omwaka.

Abakwate kuliko; Fred Mugaya akulira essomero, Sarah Nanyonga akulira eby'ensomna (D.O.S) ne Asaph Matovu akwata ssente (bursar), bakwatiddwa RDC w’e Lubaga Moses Ariho ne batwalibwa ku poliisi e Mutundwe okwennyonyolako.

RDC Ariho ku kkono Kyoshabire akulira ebyenjigiriza e Lubaga wakati ne Mugaya akulira Kitebi PS nga bamukunya ku byokugaana abayizi ebibuuzo

RDC Ariho ku kkono Kyoshabire akulira ebyenjigiriza e Lubaga wakati ne Mugaya akulira Kitebi PS nga bamukunya ku byokugaana abayizi ebibuuzo

Okukwatibwa kiddiridde RDC w’e Lubaga Ariho okufuna amawulire nga bwewaliwo abayizi abasoba mu 30 abaammiddwa ebigezeo olw’okuba tebannamalayo fiizi ate ng’essomero lya gavumenti abayizi gyebateekeddwa okusomera obwereere, ono abitaddemu engatto okutuuka ku  ssomero okulaba ogubadde.

Asanze abayizi abammiddwa ebigezo okuli ab’ekibiina eky’okuna neky’okutaano, nga baggaliddwa mu kibiina ekimu ekya Library,  olwo ng’eri bannaabwe abaamalayo fiizi baweereddwa ebigezo bakola, kimuggye mu mbeera naayita omukulu w’essomero n’abasomesa bonna mu lukiiko olw’amangu.

Sarah Nanyonga D.O.S naye yaakwatiddwa

Sarah Nanyonga D.O.S naye yaakwatiddwa


Akunyizza akulira essomero lino Mugaya nga bwamubuuza nsonga ki, egaanisa abayizi abasomera mu ssomero lya gavumenti  okukola ebigezo ebimalako omwaka ate nga byebibayisa okubatwala mu bibiina ebirala.
Mugaya yeewozezzaako nti, wadde lino ssomero lya gavumenti naye b’atuuza olukiiko lw’abazadde olwa PTA , nebasalawo abazadde babeeko ssente zebasasulayo 96,000/ kibasobozese okufunayo abasomesa abalala kubanga gavumenti yaabwa batono nga tebamala bayizi abangi beebalina, nga ye nsonga lwaki baasaba abazadde okusasulayo ku fiizi entonotono.

RDC ng'ali n'abasomesa mu lukiiko

RDC ng'ali n'abasomesa mu lukiiko


Wabula Ariho n’amutegeeza  nti, ensonga ye yaandiba entuufu, nti naye enteeseganya yaabwe yaaliwo wakati we na bazadde,  abayizi tebasaanye kukkotoggerwa bwebati,  kubanga ebibuuzo byebibatwala mu bibiina ebirala,  n’ategeeza nti bandibalese nebakola  ebigezo waakiri nebakwata alipoota zaabwe nebazibawa nga basasudde nga UNEB bwekola naye nebatakotoggerwa batyo.
Mugaya alabye ensonga erinnye enkandaggo naasaba ekisonyiwo nti,  tekigenda kuddamu kubeerawo era abayizi  bagenda kuweebwa ebibuuzo amangu ddala babikole.
Wabula abasomesa abamu mu kubakunya  basoose kutegeeza nti,  ebibiina  bya wansi okuli P.1, p.2 ne P.3 baawummudde oluvannyuma lw’okumalayo ebigezo,  naye nga nabo waaliwo abagaaniddwa okukola ebibuuzo.
Bano nabo Ariho alagidde baayitibwe bakomewo bakole ebigezo, n’ategeeza nti ebikolwa bwebiti byebiviirako okuvumaganya gavumenti eyateekawo enkola ya bonna basome okuyamba abaana abatalina busobozi okusoma, kyokka ate abakulira amasomero nebaleetawo enkola zaabwe ezivuganya eya gavumenti kuba batuause nokulemesa abayizi okukola ebigezo.

RDC ng'ali n'abaana abammiddwa ebibuuzo

RDC ng'ali n'abaana abammiddwa ebibuuzo


Ariho alabudde abakulira amasomero ga gavumenti gonna mu Lubaga okwetereeza nti, kubanga kino kimuzibudde amaaso era agenda kutalaaga amasomero gonna okuggyamu kawukuumi avumaganya gavumenti.
Oluvannyuma Ariho ng’akozesa abakuumi be,  akutte akulira essomero lino Fred Mugaya, D.O.S Sarah Nanyonga ne bursar Asaph Matovu,  nebatwalibwa ku poliisi e Mutundwe okubaako byebannyonyola oluvannyuma nebaggalirwa ku poliisi e Nateete.
Awadde etteeka okuyita abayizi bonna abazziddwa awaka nga bammiddwa ebibuuzo babayite bakomewo babikole, nasuubiza okukomawo ku ssomero lino enkya (leero) okukakasa nti babikoze
Tags: