GEN.Mugisha Muntu agumizza abantu b'e Bulambuli ne Sironko ku Kubumbulukuka kw'Ettaka n'Amataba ebibasuza nga bakukunadde agamba nti gavumenti ye yakweyambisa abakugu okunogera ekizibu kino eddagala.
Mugisha Muntu ng'anoonya akalulu
Muntu bw'abadde asaggula akalulu mu Disitulikiti y'e Bulambuli mu lukungaana lw'akubye mu Tawuni y'e Muyembe abatuuze bamulaajanidde ku kubumbulukuka kw'Ettaka okususse okubattira abantu baabwe n'okubonoonera ebintu.
Abantu b'e Bulambuli,bategeezezza Muntu abantu baabwe bangi abazze bafiira mu kubumbulukuka kw'ettaka ne bamusaba nti bw'atwala obuyinza nabo abalowoozeko.

Mugisha Muntu ng'asaba akalulu
Gen.Muntu mu kwogerako eri abantu b'e Bulambuli abasabye bamulonde n'abagumizza nti bw'afuuka Pulezidenti wakweyambisa abakugu okulabanga ekizibu ky'okubumbulukuka kw'Ettaka kinogerwa e Ddagala abantu bafunenga okulabulibwa mu budde.
Muntu era agamba nti bwekinaabanga kyetaagisizza okusengula abantu mu bitundu ebikosebwa okubumbulukuka kw'ettaka gavumenti yakubayambanga okubaddukirira ne Ssente z'entandika mu bitundu ebipya gy'eba ebasengulidde.
Ku kizibu ky'Amataba e Bulambuli,Muntu agambye nti nakyo wakweyambisa abakugu mu by'Amazzi okulabanga amazzi agabeera amangi mu bitundu bagatemera amakubo okutangira amataba