Amawulire

Ab'essigga eddamuzi batomgoza ebitabo bisatu ebigenda okutunuulirwa nga bakola mirimu mu myako etaano mu maaso

EKITONGOLE Ky'a Mateeka nesigga eddamuzi batongozza ebitabo bisatu nga ekisooka kiraga byebateeseteese okukola emyaka 5 mumaaso , ekirala byebeyamye okukola  ate ne byebasobodde okukola.   

Nobert Mao ng'assa omukono ku kitabo
By: Ssempijja Godie, Journalists @New Vision

EKITONGOLE Ky'a Mateeka nesigga eddamuzi batongozza ebitabo bisatu nga ekisooka kiraga byebateeseteese okukola emyaka 5 mumaaso , ekirala byebeyamye okukola  ate ne byebasobodde okukola. 

Omukolo guno gubadde ku   Mystil Hotel e Nsambye nga gwetabiddwaako Nobert Mao Minister we byamateeka era nga yabadde omugenyi omukulu  , Ono asinzidde wano n'agamba nti abantu balina okumanya nti betaaga gavumenti wadde abamu befuula nti tebagasa ekintu kyagamba nti kikyamu nnyo  naye nti Gavumenti tegenda kugaana bawereza mumbeera yonna . 

Nobert Mao ng'ali wamu n'abessigga eddamuzi

Nobert Mao ng'ali wamu n'abessigga eddamuzi

Ono agenze mu maaso n'asaba abakozi okuva mu Kitongole kye byamateeka okukola emirimu gyabwe n'obukugu ate n'okuwereza abantu obulungi awatali kyekubiira oba kusosola ate nti musanyufu okuba nga mu kiseera kino ekitongole kino kisobodde okukola enkulaakulana nga bazimba ekitebe ekipya ekisangibwa e Soroti era Kati kituuse ku bitundu 78 percent.

Asembyeyo nga ategeezezza nti Gavumenti esobodde okutaasa ensimbi nnyingi eziwela Trillion 4.6 okuva mu misango nga kivudde ku Kitongole kino okugiwooza gavumenti netafulumya nsimbi nyingi .

Olukungana luno lutambulidde k umulamwa ogugamba nti strengthening institutional performance and accountability for Effective Service Delivery.

Nobert Mao ng'ayogera

Nobert Mao ng'ayogera

Jane K. Mwesiga okuva mu office ya Prime minister agambye nti kimalamu amanyi okuba nti abantu balaga tebalina bwesige mu gavumenti kyagamba nti kikyamu nnyo kubanga yelina obuvunanyizibwa okuddukanya egwanga .

Ono agambye okutongoza ebitabo bino kisukawo ku kutongoza wabula  kabonero akakakasa nti  Gavumenti ekolera ku ssemateeka era nti  yeyama okuwereza abantu obulungi nga egobelele ssemateeka wamu nokufuna obwenkanya mu kooti .

Assembyeyo nga agamba nti abantu bonna balina okufuna obwenkanya awatali kusosola Wakati womugagga nomwaavu kubanga bonna banansi  abalina okuganyurwa ekyenkanyi 

Tags: