ABANTU 81 abagambibwa okulumba Rwenzori nga November 1, 2025 basimbiddwa mu kkooti enkulu e Kasese ne baggulwako emisango gy’obutujju, ettemu n’okulya mu nsi olukwe.
Abakwate kuliko n’abakazi babiri era bonna basindikiddwa ku limanda mu kkomera lya Mubuku Government Prison okutuuka nga December 23, 2025 lwe bajja okuzzibwa mu kkooti bawulire emisango gyabwe.
Omulamuzi George Mfutindinda ye yakubirizza kkooti mwe baasimbye abavunaanibwa n’abalala basatu abakyanoonyezebwa. Abasibe tebakkiriziddwa kwewozaako.
Abavunaanibwa bagambibwa okulumba ebifo by’amagye ne poliisi mu disitulikiti y’e Bundibugyo, Kasese era nga baagezaako n’okulumba amatendekero g’ebyenjigiriza 2 mu kibuga Fort Portal.
Ku lunaku lwa November 1, nga bukya ku ssaawa 11:00 ez’oku makya, ebibinja by’abantu ababagalidde emmundu baalumba Kasese Central Police Barracks, Malindi n’enkambi ya UPDF e Kakuka mu disitulikiti y’e Bundibugyo.
Waliwo n’abagezaako okulumba ettendekero ly’abasomesa erya Canon Apollo Core Primary Teachers College ne Nyakasura Senior Secondary e Fort Portal mu divizoni ya North City.
E Kasese, baalumba enkambi ya poliisi enkulu eya Rwenzori East Central Police Main Barracks esangibwa mu munisipaali ne balumya omuserikale n’okuteekera omuliro obuyumba bw’abaserikale mwe basula.
Mu bulumbaganyi bwonna, abatemu baalina ebyokulwanyisa okuli emmundu ekika kya AK-47, amajambiya, obwambe obwogi, ebiso, nga beekapise jaketi enzirugavu ne gambuutusi nga byonna birabika nga bipya.
Baalina n’eddagala ly’ekinnansi lye bakutte n’eddala nga balyesiize lye bakkiriza nti lirimu amaanyi agabawonya okukubibwa amasasi.
Omuduumizi w’ekibinja kya UPDF ekya Mountain Division era akulira ebikwekweto bya Operation Shujaa, Maj. Gen. Stephen Mugerwa yagambye nti abantu 41 abaalumba, battibwa e Kasese, Fort Portal ne Bundibugyo.
Abamu ku battibwa be baakuliramu obulumbaganyi okuli Asuman Mukirania Muganzi.