Amawulire

Aba YK Patriots batongozza kampeyini y'okunoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu mu Kampala

BANNAKISINDE kya YK Patriots batongozza kakuyege mu Kampala  ow'okunonyeza president Museveni akalulu ne kigendererwa ekyokulaba nga ku mulundi guno awangula ne bitundu 80 ku 100.  

Abamu ku bawagiz ba NRM mu Kampala
By: Brian Meembe, Journalists @New Vision

BANNAKISINDE kya YK Patriots batongozza kakuyege mu Kampala  ow'okunonyeza president Museveni akalulu ne kigendererwa ekyokulaba nga ku mulundi guno awangula ne bitundu 80 ku 100.

Kakuyege ono mwebasisinkanidde abasuubuzi abatundira ku makubo ne balombojja ebimu ku bintu byebaagala okubakolera singa presidenti Museveni ayitamu.

Oluvannyuma lw'okumala ebbanga nga batalaga ebitundu bye ggwanga ebyengyawulo mu kawefube wokusomesa abantu ku bikAbawaata ku byokulonda n'okussagulira presidenti Museveni akalulu banakisinde kya YK Patriots obwanga babworekezza Kampala ne kigendererwa ekyokusomesa n'okukunga bannakampala okulonda Presidenti Museveni mu kalulu akabinda binda.

Abantu ba Nrm mu Kampala

Abantu ba Nrm mu Kampala

Ebimu ku bitundu byebatalaze mwemubadde enguudo eziyigira amasekkati ga kampala mwebasisinkanidde abasubuzi abakolera ku makubo nebabalombojjera ennaku gyebayitamu omuli ensimbi ezibajibwako abakungu ba KCCA kyoka oluvanyuma lwokuziwaayo  nebagobebwa kumabali gamakubo kwebakolera.

Ssentebe wabasubizi bano Sulaiman Male asinzidde munsisinkano eno nasaba president okubadizaawo obutale bwolwegulo nekusande okusinga okugoba abasubuzi okukolera ebbali wamakubo.

Mungeri yeemu asabye presidenti babawe permints ssente ezibajibwako abakoze ba KCCA zibe mu mateeka nga zisobola okuyamba mu kukola enguudo,amalwaliro awamu nokugula ebyetago mu malwaliro okusinga abakozi mukitongole okuzeza.

Omwogezi wekisinde kkino era nga yakuliddemu okusaggula akalulu ko mukulembeze we ggwanga Tarik Nkata ategezeza nga kawefube ono wagendereddwamu okumanyisa abantu kubuvunanyizibwabwabwe obwokulonda.

Abamu ku bawagizi ba NRM mu Kampala

Abamu ku bawagizi ba NRM mu Kampala

Ayongeddeko nti oluvanyuma lwokutambula ebitundu bye ggwanga ebyengyawùlo basazeewo obwanga okubusa mu masekati okulaba nga abasubuzi bafibwaako.

Bagabidde abasubuzi engoye eziriko ekifananyi kya presidenti museveni nekigendererwa ekyokulaba nga kampala bamufuula Yellow wabula nga abamu kubasubuzi balabiddwako nga bagirwanira.

RDC wa kampala Shafic Ali asiimye emirimu gyabanakisinde kya YK  Patriots okuvayo nebanonyeza President akalulu nga mpaawo abakwatiddeko.

Ono yeyamye okukolagana nebanakisinde okulaba nga bakola ekisoboka nga presidenti museveni awangulira waggulu mu kalulu akabinda binda.

Tags: