Pulezidenti Museveni azzeemu okulondebwa ku bwa ssentebe bw'ekibiina kya NRM
Pulezidenti Yoweri Museveni bazzeemu okumukakasa nga ssentebe w'ekibiina kya NRM nga tavuganyiziddwa.
Pulezidenti Museveni ne mukyala we nga batuuka e Kololo
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision
Pulezidenti Yoweri Museveni bazzeemu okumukakasa nga ssentebe w'ekibiina kya NRM nga tavuganyiziddwa.
Museveni yayiseemu nga ssentebe wa NRM era yagenda okukwatira ekibiina kya kya NRM bendera mu kulonda kw'obwa Pulezidenti mu kalulu ka 2026.
Among ne banne nga batuuka e KOLOLO
Bombi ekisanja kyabwe kino ekigenda kubeera kya myaka etaano okutuuka mu kulonda kwa 2031.
Mu ngeri y'emu n'omumyuka we asooke Al- Hajji Moses Kigongo naye yayiseemu nga tavuganyiziddwa nga bwekyali ekisanja kyabwe ekiwedde.
Hadijah Namyalo ne banne
Kati obunkenke bulinddiridde kulonda omumyuka wa ssentebe owookubiri omukyala ekiriiko embiranyi wakati wa Rebecca Kadaga ne Spiika Annet Anita Among era bombi weebali balinze kwabika mu kalulu