Pulezidenti Museveni aguddewo ttabamiruka w'ekibiina kya NRM ku kisaawe e Kololo n'asaba bannayuganda okufaayo ennyo okuva mu kukoleerera embuto zabwe.
Omulamwa gwe twazze nagwo mu kisanja ekijja ogwa ' Protect the gains' gutegeeza nti tulina okukuuma eggwanga byelituuseeko mu myaka 40, bukya nga tujja mu buyinza nga NRM.

Haijah Namyalo ng'anyumyamu ne Hajji Moses Kigongo ne Balam
Era mukulu nnyo kubanga mu kiseera kino ekonome ya Uganda ezitowa obuwumbi bwa ddoola 66 nga tusobodde okukubiisaamu emirundi 16, mu bugagga bw'e ggwanga bwetwasangawo kyokka nga bwegunatuukira omwaka gwa 2040 Uganda tusuubira nti ejja kubeera etuuse ku bugagga bwa buwumbi bwa ddoola 500.
Museveni agambye nti okusooka bannayuganda bangi bali bakoleera mbuto zaabwe naye mu kiseera kino basigadde batono ebitundu 37 bokka ku buli 100.
Wabula yasubiza nti singa banajjumbira enkola za gavumenti nga emmyoga, PDM ne Grow Pulezidenti alina obukakkafu nti nabo bajja kuvunnuka embeera eno mu bwangu

Bannakibiin akya NRM nga bawaGA E kOLOLO
Yagambye nti enkola ya bonna basome nayo eyambye nnyo eggwanga wadde amasomero gw'obwa nannyini ge gasinga obungi nga gali 32,000. Kyokka gasomesa abayizi abataweera na kakadde ekitegezza nti bannayuganda basinga kwetanira nnyo masomero ga gavumenti
Bino Museveni ayogeredde Kololo bwabadde aggulawo okulonda kwa baliiko obulemu 'Special interest groups' (SIGs) abavubuka, abakadde , abakyala n'abagenda okukikkirira abasuubuzi ( entrepreneurs ) , ebazirwanaako abakulembeeera ku kuliiko lwa NEC okutandiise leero.