Poliisi e Ntinda eri mukuyigga omusirikale w'ekitongole ky'obwannanyini agambibwa okukuba mukamaawe amasasi agamusse

Poliisi e Ntinda eri mukuyigga omusirikale w'ekitongole ky'obwannanyini agambibwa okukuba mukamaawe amasasi agamusse n'ekigendererwa eky'okumunyagako ssente. 

Poliisi e Ntinda eri mukuyigga omusirikale w'ekitongole ky'obwannanyini agambibwa okukuba mukamaawe amasasi agamusse
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Poliisi e Ntinda eri mukuyigga omusirikale w'ekitongole ky'obwannanyini agambibwa okukuba mukamaawe amasasi agamusse n'ekigendererwa eky'okumunyagako ssente. 

Attiddwa , ye Antony Mutinisa director wa Mutinisa motors and driving school ng'ebeera Bulindo mu monisipaali y'e Kira mu Wakiso. 

Kigambibwa nti ettemu lino eribadde e Ntinda, likoleddwa Hilary Byaruhanga 28 owa kampuni ya Don World security company nti n'amunyagako ssente ezitannamanyibwa muwendo wamu n'emmotoka y'omugenzi. 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti emmundu ekozeseddwa bagizudde era nga mu kiseera kino, bayigga Byaruhanga.