Poliisi efulumizza amannya g'abantu abasatu abalumiziddwa Sauna bw'eyabise e Buziga.
Akabenje kigambibwa kabadde ku woteeri ya Buziga Country Resort e Makindye Municipality mu Kampala, Sauna bwe yayabise akawungeezi k'eggulo n'erumya abantu.
Abalumiziddwa, kuliko Hajat Mansituula 68 nga y'amyuka, ssentebe wa LC 1 e Katuuso Makindye, Zahara Nakaweesi 39 ng'ono afunye ebisago n'amenyeka okugulu ne Isha Maamaraamu.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala ,Luke Oweyesigyire , agambye abamu batwaliddwa mu ddwaaliro e Nsambye ne Mulago.
Agasseeko nti nga bakolagana n'ekitongole ekizimbi n'ebitongole ebirala, batandise okunoonyereza era ng'ekifo kikuumibwa poliisi butiribiri.