PROSTAT ACADEMY LIGHTS UP DANA CUP WITH DAZZLING DISPLAY IN DENMARK
Dana Cup 2025 – Under-11 Results
Prostat 8–2 Bagterp IF 3 (Denmark)
Prostat 14–0 Hinna IL-Fotball (Norway)
Prostat 3–1 Tars/Ugilt IF (Denmark)
Prostat 3–7 Hamrun Spartans (Malta)
Round of 16: Prostat 6–4 Zak Zbiczno (Poland)
TTIIMU ya Prostat yeeriisa nkuuli mu mpaka za Dana Cup eziyindira mu kitundu kye Hjørring, mu ggwanga lya Denmark.
Empaka zino ezaatandise ku Mande akawungeezi n’omukolo gw’okwaaniriza ttiimu okuva mu mawanga 45, z’etabiddwaamu Prostat n’ekigendererwa ky’okwoolesa ekitone kya bamusaayumuto baayo mu mawanga g’ebweru. Era bwe yabadde esimbula ku kisaawe e Wampeewo ku Lwomukaaga ku makya,agikulira Richard Mugerwa yaweze nga bwagenda okulaga abazungu taaci wamu n’okukiikirira Uganda mungeri eneegiweesa ekitiibwa mu muzannyo guno.
Okuwera kunno,bamusaayimuto b’akademi eno abali wansi w’emyakka 11 bakutuukiriza bwe baawangudde emipiira gyabwee 3 egyaguddewo ekibinja ne bayitawo ku luzannya luddako. Bano basoose kukomerera ttiimu y’abategesi eya Bagterp IF 3 ggoolo 8-2, ne bawuttula Hinna IL-Fotball eye Norway 14-0, olwo basembayo okuwangula Tars/Ugilt eya Denmark 3-1 mu mupiira ogwabayisizaawo mu kibinja. Wadde nga yakubiddwa Hamrun Spartans ey’e Malta 7-3, baayitiddewo mukifo ekyookubiri mu kibinja ekyaakulembeddwa Spartans.
Ku luzannya olw’e 16, Prostat yayitiddewo mu kakodyo k’okukuba penati bwe yawangudde Zak Zbiczno ey’e Poland 6-4 oluvanyuma lw’okukola amalirira ga 3-3 mu ddakiika 90.
Mukiseera kino,Prostat erinze kuttunka ne FC Duevej eye Denmark okulabako ttiimu eneeyitawo ku luzannya lwa Semi.
Omuteebi wa ttiimu eno era kapiteeni waayo,Prince Jjunju,y’omu ku bakulembedde abateebi ne ggoolo 14 ze yavudde nazo mu kibinja.
Empaka zino zisuubirwa okukomekerezebwa ku Lwomukaaga luno ku mukolo abategesi kwe bagenda okugabira abawanguzi emiddaali n’ebikopo. Zizannyibwa buli mwaka era ng’zomulundi guno zeetwabiddaamu ttiimu ezisoba mu 200 mu mitendera egyenjawulo okuviira ddala ku myakka 6 okutuuka ku 16.
Prostat yatutte tiimu 2 okwaabadde ey’abali wansi w’emykka 11 ne 14, wabula eya 14 teyayiseewo ku luzannya luddako oluvanyuma lw’okuwangulayo omupiira gumu ku 3 gye yazannye mu kibinja