KKOOTI ya Buganda Road eyimbudde Noah Mitala amannyiddwa nga Noah Mutwe. Mitala ng’abadde awezezza emyezi ebiri mu kkomera yayimbuddwa omulamuzi Ronald Kayizzi eggulo n’alagirwa asasule akakalu ka bukadde butaano mu buliwo, ate abamweyimiridde buli omu obukadde 50 ezitali zaabuliwo.
Abaamweyimiridde kwabaddeko meeya wa Kawempe munispaali, Emmanuel Sserunjoji, omwogezi w’eggombolola Mituba ena e Lubaga Florence Kiwanuka ne taata we Henry Kabuubi.
Mitala avunaanibwa n’eyaliko omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine emisango okuli okukozesa kompyuta okukuma omuliro mu bantu nga baweereza obubaka bw’okulumba n’okutta omukulembeze w’eggwanga nga bakozesa ppeeva, ssaako omuduumizi w’eggye ly’eggwanga Gen. Muhoozi Kaneirugaba.