PULEZIDENTI Museveni yeeyamye okwongera amaanyi mu by’obujjanjabi mu ggwanga okusobola okutaakiriza obulamu bwa bamaama n’abaana abaakazalibwa naddala ku ndwadde enkambwe ezitera okubalumba ne ziviirako n’abamu okufa oba okufuna obukosefu obw’olubeerera.
Yagambye nti mu mbeera ng’obuvujjirizi okuva mu mawanga g’ebweeru obugenze bukendeera, kye kiseera amawanga ga Africa okugatta obwongo bongere amaanyi mu buyiiya bw’eddagala n’okuteekawo ensawo y’ebyensimbi eneeyambangako bannansi okutuusibwangako obujjanjabi obw’omulembe.
Bino byabadde mu bubaka bwe yatisse omumyuka we, Jessica Alupo bwe yabadde aggulawo olukung’aana ggaggadde mu Kampala olwetabiddwaamu abasawo abakugu mu kujjanjaba abakyala ab’embuto n’abaana abaakazaalibwa nga bava mu lukalu lwa Africa.
Mu lukung’aana luno mwe baatongolezza enkola y’obujjanjabi eyatuumiddwa “ Triple Elimination” ekitegeeza nti, abakyala b’embuto bwe banaabanga bagenze okunywa eddagala kijja kufuuka kya buwaze okubaggyako omusaayi bakeberebwe endwadde okuli; siriimu, kabootogo ne Hepatitis B nga ekintu kye kimu kijja kukolebwanga ne ku baana abaakazaalibwa.
Minista w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng yannyonnyodde nti endwadde zino baasazeewo zikwatibwe wamu mu kujjanjabibwa nga kino kiyambako mu kukekkereza ensimbi n’okuwanga amangu obujjanjabi eri bamaama n’abaana baabwe singa baba babuzuuliddwaamu.
Yategeezezza nti ku lukalu lwa Africa ekirwadde kya kabootogo kyongedde okweriisa enkuuli nga mu nsi yonna kitawaanya abantu obukadde 8 nga ku bano 230,000 be bafa kyokka nga abasinga bali mu mawanga ga Africa.
Abantu obukadde 65 okuli n’abaana ku lukalu lwa Africa be balina ekirwadde ekikosa ekibumba ekya Hepatitis B so nga era ne bamaama abamu olw’okwegayaalirira weesanga nti wakyaliyo abazaala abaana ne babasiiga akawuka ka siriimu