OMUDUUMIZI wa poliisi mu kitundu kya Elgon omuli Mbale Samuel Asiimwe, alagidde abakulira poliisi 9 mu kitundu ekyo , okukwata n'okuggalira oyo yenna , eneetaba mu mivuyo gy'akamyufu ka NRM akalondebwa leero.
Leero, balonda ba ssentebe ba distulikiti , ba meeya ba munisipaali n'ebibuga n'aba LC3 mu kamyufu ka NRM.
Ba registrar abawerako, abagambibwa okwetaba mu mivuyo gy'okujingirira n'okulangirira obuwanguzi mu bukyamu mu kamyufu akakaggwa, baakwatiddwa n'abamu ne babasimba mu mbuga z'amateeka nga President bwe yalagidde.
Ku luno, Asiimwe, alabudde abalondesa n'abalonzi, okwewala emivuyo era n'alagira abadumizi ba poliisi mu bitundu , okubakwata.