Omwana ow'emyazi ebiri, abbiddwa okuva ku nnyina abadde mu njiri ku kkanisa ya Christian Life Church e Makerere Kavule mu Kampala.
Omwana abbiddwa omukazi ategerekeseeko erya Shanita eyefudde ayamba Grace Tumusiime ( maama w'omwana )gwe baludde nga basaba bombi, okumumusitulirako.
Bino, bibaddewo ku ssaawa ng'emu ne ddakiika 20 akawungeezi eggulo ,bwe yabadde amuzazise wansi nga bali mu kusaba.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, asabye abantu okuyambako mukunoonya omwana ono asobole okuddizibwa, bakadde be.