Amawulire

Poliisi eyise omugagga agambibwa okwenyigira mu kulumba ebbaala ne bakuba abantu

POLIISI e Kabalaga eyise omugagga era omusuubuzi w'e Kasanga, agambibwa okwekobaana n'abantu abalala ne balumba ebbaala ne bakuba n'okunyaga ebintu.

Poliisi eyise omugagga agambibwa okwenyigira mu kulumba ebbaala ne bakuba abantu
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

POLIISI e Kabalaga eyise omugagga era omusuubuzi w'e Kasanga, agambibwa okwekobaana n'abantu abalala ne balumba ebbaala ne bakuba n'okunyaga ebintu.

Bino byabadde ku bbaala ya Chezz Boss Mutoto Bar e Munyonyo mu munisipaali y'e Makindye mu Kampala, bwe balumbye ekifo ekyo ku Sunday ne balumya abamu ku bakozi n'okubba amasimu g'abantu.

Anoonyezebwa ye Shakibu era nga poliisi e Kabalagala emaze okumuwandiikira yeyanjule mu bwangu, oluvannyuma lw'okwekeneenya ebifaananyi by'efujjo eryakoleddwa.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesyigire, avumiridde ebikolwa bino, era n'agattako nti okunoonyereza kugenda mu maaso.

Tags: