OLIISI y'ebidduka mu Kampala, enoonya nnyini mmotoka ekika kya Prado agambibwa okugiwa omwana we ow'emyaka omukaaga n'agivugira mu bantu.
Bino, byabadde ku beach emu e Ntebe ku Ssekukkulu , omuzadde, gy'agambibwa okuwa omwana ono emmotoka nnamba UAT 817J , PRODO n'agivuga okugyetolooza nga mulimu ne muto munne omulala.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, ategeezezza nti omusango baguguddewo ku nnyini mmotoka eno oluvannyuma lw'akatambi okusaasaanira emikutu, era baginoonya annyonnyole .
Avumiridde ekikolwa kino, n'agamba nti teri muntu ali wansi wa myaka 18, akkirizibwa kuvuga mmotoka, okusinziira ku mateeka ga Uganda.