OMUVUBUKA aweereddwa ekitanda mu ddwaaliro e Iganga ng'ali bubi , oluvannyuma lw'abamu ku bawagizi b'abesimbyewo, okulwanaganira mu lukungaana.
Bino, bibadde mu lukungaana lw'ebyobufuzi , olukubiddwa mu kabuga k'e Nantamali mu Ggombolola y'e Nansololo mu disitulikiti y'e Kaliro , abantu abatannamanyika bwe batuusizza ebisago eby'amaanyi ku Bosco Isabirye 28.
Isabirye mutuuze w'e Nantamali , era nga kigambibwa nti olukungaana lwabadde lugenda mu maaso, ne wabakulako okulwanagana , kwe kukosebwa n'atwalibwa mu ddwaaliro ng'embeera mbi.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti bayigga abo bonna, abaabadde emabega w'ebikolwa bino, babonerezebwe