Amawulire

BADEREEVA 154 be bakwatiddwa mu bikwekweto ebyakoleddwa mu nnaku enkulu

BADEREEVA 154 be bakwatiddwa mu bikwekweto ebyakoleddwa mu nnaku enkulu bye batuumye 'Tuuka mirembe'.

BADEREEVA 154 be bakwatiddwa mu bikwekweto ebyakoleddwa mu nnaku enkulu
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

BADEREEVA 154 be bakwatiddwa mu bikwekweto ebyakoleddwa mu nnaku enkulu bye batuumye 'Tuuka mirembe'.

Ku bano 38 kigambibwa tebaabadde na layisinsi, 12 nga bavuga batamidde, 42 kuvugisa kimama, 42 kabindo, 13 kutikka bubi ate 7 ze zaabadde zifiiridde ku makubo.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, agambye nti bakyagenda mu maaso n'ebikwekweto bino, okulaba ng'abantu bayita bulungi mu nnaku enkulu.

Alabudde abantu okwewala okuvugisa ekimama naddala nga bayingira omwaka .
Mu kusooka, ategeezezza nga bwe bakyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku kabenje, omwafiridde abantu 7 ku luguudo lw'e Mbarara

Tags: