Amawulire

Poliisi eyigga abantu abaakubye ne batta agambibwa okuba omubbi n'omulambo gwe ne baguteekera omuliro

POLIISI e Hoima, eri mu kuyigga abantu abaatwalidde amateeka mu ngalo ne bakuba ne batta agambibwa okuba omubbi, n'omulambo gwe ne baguteekera omuliro.

Poliisi eyigga abantu abaakubye ne batta agambibwa okuba omubbi n'omulambo gwe ne baguteekera omuliro
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

POLIISI e Hoima, eri mu kuyigga abantu abaatwalidde amateeka mu ngalo ne bakuba ne batta agambibwa okuba omubbi, n'omulambo gwe ne baguteekera omuliro.

Bibadde Kibingo Lower Cell mu Kibuga Hoima, abantu abatannamanyika bwe bakkakkanye ku muvubuka ali wakati w'emyaka 20 ku 25 ne bamukuba ne bamutta.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu ekyo Julius Allan Hakiza, okunoonyereza kugenda mu maaso.

Ate omwogezi wa poliisi mu Kigezi Elly Maate , agambye nti nabo, bali mu kunoonyereza ku nfa y'omusajja Barnabas Mugabe 37, omutuuze w'e Karukara cell mu kabuga k'e Hamurwa e Rubanda.

Ono bamusanze afiiridde mu kisenge mw'abadde asula, nga kigambibwa nti baludde nga balina obutakkaanya ne mukyala we Lelia Ahimbisibwe.

E Kayunga ku kyalo Kiwangula, mu ggombolola y'e Busaana , Assistant Commissioner of Police eyawummula Wilson Semambo 65, naye bamusanze afiiridde mu ddiiro ly'ennyumba ya kitaawe okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Ssezzibwa Hellen Butoto.

Tags:
Amawulire
muliro
bantu
kuyigga
Kibuga Hoima