Akabinja k'abavubuka akaludde nga katigomya Bannakampala ne Bannawakiso, poliisi ekaabuluzzaamu, bwe bakutte abakalimu ne babaggalira.
Ebimu ku bissi bye baabasanze nabyo.
Kino kiddiridde obulumbaganyi obwabadde e Ssumbwe mu Wakiso, ababbi bana nga balina emmundu n'ebiso, bwe babbye ssente, amasimu tv n'ebintu by’omu maka ebiwerako.
Oluvannyuma lw'abakugu okwekenneenya ebinkumu, kigambibwa nti baakizudde nga bya Owen Tugume nga yali yakwatibwako ku misango gy'okubbisa eryanyi mu mwaka gwa 2020.
Omu ku bazigu abagambibwa okutigomya ekibuga.
Oluvannyuma, baamuyizze ne bamukwata nga May 8 okuva ewa Biira Mayanja e Nateete.
Ebijambiya n'ebyuma ebimenya amayumba, nabyo poliisi n'ebifuna.
Mu kumukunya, kigambibwa nti yalonkomye banne okuli Patrick Ssekimpi amanyiddwa nga Patu, Charles Katwesigye nga yeeyita Rasta.
Omulala ye Ronald Mwanje amanyiddwa nga Ssaalongo era nga bano bakuumirwa ku poliisi e Nateete ate Owen ali ku poliisi e Wakiso ng'okunoonyereza kugenda mu maaso okusinziira ku Patrick Onyango, omwogezi wa poliisi mu Kampala.