Amawulire

Poliisi etandise ekikwekweto eky'ennaku 100 okugoba mmotoka 'envundu' ku nguudo

Okusinziira ku alipoota ya poliisi eya 2025 , abantu 1,183 be baafira mu bubenje obwagwa mu Kampala n'emiraano nga kisuubirwa nti kyava ku mmotoka ezitali mu mbeera nnungi, okuvugisa ekimama n'endiima.

Poliisi etandise ekikwekweto eky'ennaku 100 okugoba mmotoka 'envundu' ku nguudo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi y'ebidduka ng'essa mu nkola ebiragiro bya minisita w'ebyentambula, Fred Byamukama, batandise ebikwekweto eby'ennaku 100 okulwanyisa emmotoka enkadde ku kkubo mu Kampala.

Okusinziira ku alipoota ya poliisi eya 2025 , abantu 1,183 be baafira mu bubenje obwagwa mu Kampala n'emiraano nga kisuubirwa nti kyava ku mmotoka ezitali mu mbeera nnungi, okuvugisa ekimama n'endiima.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti, ekikwekweto kino kitandise olwaleero era emmotoka za takisi ezisaabaza abantu, era nga kugendera ddala ennaku 100

Agambye nti ezimu ku mmotoka zino, enzigi bazisibisa miguwa, zinywera amafuta mu budomola, siteeringi baziwanirira na nkoba, tezirina mataala, emipiira gyaggwaako, entebe nvundu n'ebirala.

Alabudde baddereeva ne bannyini zo, okuzitwala zirongoosebwe oba si ekyo, zaakukwatibwa n'abazivuga, bavunaanibwe.

Kananura agasseeko nti minisitule okwekebejja emmotoka zino ezisaabaza abantu kwe yakoze emabegako, yakizudde ng'emmotoka 60 ku buli 100, ziri mu mbeera mbi ddala era tezikkiriizibwa ku nguudo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Poliisi
Kikwekweto
Kidduka