MAAMA eyasse abaana be babiri ng’abasanjaga nga embuzi e Bunga mu Kampala attottoledde poliisi ng’obuzibu bwe bwava ku butakkaanya bw'abadde nabwo mu maka ne bba okumala ebbanga.
Dorothy Namayo 43, munnansi wa Kenya ng'ali mu kujjanjabwa mu ddwaliro e Mulago yakoze siteetimenti ku poliisi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Rachael Kawala yakakasizza nga bwe baggye siteetimenti ku Namayo n’abategeeza nti obuzibu bwava ku butabanguko mu maka obwali bususse, kyokka yagaanye okulambulula ebikwata ku butabanguko n’ategeeza nti kijja kutaataaganya okunoonyereza okugenda mu maaso.
Mu kiseera kino abanoonyereza bagezaako okulaba oba ebyayogeddwa Namayo bikwatagana bulungi n’ebyali mu maka ng’ettemu terinnakolebwa.
Mu kiro ekyakeesa ku Lwokuna, Namayo yafumita abaana be bataano ebiso, ababiri ne bafa nga yasooka kwokya mmotoka ekika kya drone n’ebengeya.
Byali ku kyalo Kalungu zzooni mu muluka gw'e Ggaba mu diviizoni y'e Makindye. Omukozi w’awaka Maria Sana yakuba enduulu eyasomboola baliraanwa abaawalampa ekikomera ne bayingira munda, ne basanga ng’omwana omukulu Daizy Khadija 14 afumitiddwa mu lubuto ng’ebyenda biri ku ngulu ng’amaze okufa.
Baayingidde mu kisenge omwabadde musula omukyala nga naye asigaddeko kikuba mukono nga yeefumisefumise. Abaana abaafuna ebisago abasatu ne nnyaabwe bakyajjanjabirwa mu ddwaaliro e Mulago.
Okusinziira ku sitaatimenti ya Sana ku poliisi, yagambye nti akoledde emyaka esatu mu maka gano. Nti emyaka egyasooka baali mu mirembe okutuusa mu May w’omwaka guno, nnyinnimu Ediriisa Troe, munnansi wa Mali lwe yawasa omukazi owookubiri gwe yateeka e Namasuba ku lw'e Ntebe.
Ekyavaamu, z'entalo ezitaggwangawo buli olukya era omwami n’atandika okusula ebbalirirwe mu maka g'e Bunga.
Olunaku olwaliko enjega abafumbo era baasooka kuyomba ekyawaliriza muwala waabwe omukulu Khadija Daizy 14, (kati omugenzi) okubaako omuntu gwe yakubira essimu n’ajja n’abakkakkanya. Kigambibwa nti ng’omukazi tannasanjaga baana be, yasula aweereza bba obubaka ku ssimu ng’amutegeeza nti okuzaalibwa kumu n’okufa kumu era teyakomba ku mpeke ya tulo.
Kyategeerekese nti omusajja abadde yagulira mukyala we emmotoka ekika kya drone (eyayokeddwa), ng’eno Namayo abadde agikozesa okusomberamu abaana b’atwala ku ssomero n’okubaggyayo.
Namayo abadde aliko obubaka bwe yassa ku mukutu gwa WhatsApp ogw’ekyalo ng’asaba abatuuze bongere okumuwa abaana b’okusomba ng’abatwala ku masomero ag’enjawulo kumakya n’abaggyayo olw’eggulo.