Omuwala ow'emyaka 21 avudde mu mbeera n'akuba omusajja ow'emyaka 65 enkumbi ku mutwe n'amuttirawo.
Entabwe, evudde ku mukadde kugenda kubanja omuwala ssente 4,000/- ezaabadde ezaasigaddeyo ku nsawo y'amanda eyabadde eya 8,000/- gye yabadde amuguzizza.
Ettemu lino, libadde ku kyalo Buyola mu ggombolola y'e Buyobo mu disitulikiti y'e Sironko, omuwala Miriam Nafuna 21 bw'asse Moses Busima 65 .
Kigambibwa nti Busima yaguzizza Nafuna ensawo y'amanda ku 8,000/- era Nafuna n'asasulako 4,000/- n'asigala nga bamubanja 4,000/- .
Kitegeezeddwa nti Busima bw'agenze okukima ssente ezibadde zisigaddeyo, nti Nafuna kwe kuva mu mbeera n'amukasukira amanda ge nti abadde agayoola wansi, n'amukuba enkumbi ku mutwe n'akalirawo.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti Nafuna bamukutte ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso