Amawulire

Poliisi eyigga omuwala agambibwa okubaako ky'amanyi ku ttemu lya mukwano gwe e Bukoto

Abatemu abatannamanyika, bayingiridde omuwala abadde akola ku bbaala emu ne bamutemula oluvannyuma ne basibawo ne babulawo.

Poliisi eyigga omuwala agambibwa okubaako ky'amanyi ku ttemu lya mukwano gwe e Bukoto
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abatemu abatannamanyika, bayingiridde omuwala abadde akola ku bbaala emu ne bamutemula oluvannyuma ne basibawo ne babulawo.

Omugenzi Namuwulya eyafumitiddwa n'attibwa mu kazigo ke e Bukoto.

Omugenzi Namuwulya eyafumitiddwa n'attibwa mu kazigo ke e Bukoto.

Mu kiseera kino, poliisi e Kira Rd, eyigga munne Rose Tulindamukama gwe babadde basula naye mu nnyumba, ayambeko okunoonyereza ku ttemu lino.

Attiddwa ye Jovia Namuwulya 22 ng'abadde apangisa mu zzooni ya Mukalazi e Bukoto mu Kampala, omulambo  bagulese mu kitaba ky'omusaayi ennyumba nga nsibe.

Rose (ku ddyo) poliisi gw'eyigga ku by'okutta Jovia (Ku kkono)

Rose (ku ddyo) poliisi gw'eyigga ku by'okutta Jovia (Ku kkono)

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti, omugenzi abadde mukozi mu bbaala emu era nga mu zzooni eyo, abadde yaakamalamu emyezi musanvu nti omuwala Tulindamukama kwe kumwegattako ne babeera bombi.

Agasseeko nti omuyiggo gw'omuwala ono, agambibwa okwenyigira mu ttemu lino, gugenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Ttemu
Kuyigga
Poliisi
Mukwano
Kumanya