Amawulire

Poliisi ekyayigga ababbi b'emmundu abaalumbye ekyalo ne banyaga ebintu ne ssente

POLIISI e Bulenga , ekyagenda mu maaso n'okuyigga ababbi ab'emmundu , abaalumbye ekyalo ky'e Kikaaya mu muluka gw'e Ssumbwe mu Wakiso, ne banyaga ebintu ne ssente.

Poliisi ekyayigga ababbi b'emmundu abaalumbye ekyalo ne banyaga ebintu ne ssente
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

POLIISI e Bulenga , ekyagenda mu maaso n'okuyigga ababbi ab'emmundu , abAalumbye ekyalo ky'e Kikaaya mu muluka gw'e Ssumbwe mu Wakiso, ne banyaga ebintu ne ssente.

 

Bano abasatu, ababadde batambulira ku bodaboda, balumbye bizinensi eziwerako omuli depot, amaduuka ga Mobile Money ne Agent banking , amaduuka agaalejjalejja ne banyaga ssente eziwerako n'ebintu.

 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti nga beeyambisa kkamera okuva ku bizimbe, bayigga abazigu bano. Asabye abantu abalina amawulire gonna agakwata ku babbi bano, okutegeeza poliisi.

Tags:
Amawulire
Mmundu
Wakiso
Bintu
Ssente