Amawulire

Ssekikubo apeeka NRM emuddize ssente ze yasonda okumala emyaka 5

OMUBAKA Theodore Ssekikubo ( Lwemiyaga) alangiridde nga bw’avudde mu kabondo ka NRM Buganda Caucus n’asaba addizibwe ssente ze, ze bazze bamutemako okumala emyaka 5.

Ssekikubo apeeka NRM emuddize ssente ze yasonda okumala emyaka 5
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

OMUBAKA Theodore Ssekikubo ( Lwemiyaga) alangiridde nga bw’avudde mu kabondo ka NRM Buganda Caucus n’asaba addizibwe ssente ze, ze bazze bamutemako okumala emyaka 5.

 

Yasinzidde mu lukuhhaana lw’abaamawulire ku palamenti n’agamba nti buli mwezi babadde bamusalako 150,000/-, eziggyibwa ku buli mubaka ali mu kabondo okuddukanya emirimu gy’ekibiina egy’enjawulo. 

 

Ekimuwalirizza okubanja ssente ze, yagambye nti ke kabaga akaakoleddwa munne bwe bavuganya ku kifo ky’omubaka wa palamenti (Emmanuel Rwashande) nga tategeezeddwaako.

 

Yategeezezza nti akabaga kaategekeddwa minisita omubeezi ow’ebibiina by’obwegassi, Harunah Kasolo n’abakungu abalala n’ekigendererwa eky’okunoonyeza Rwashande obuwagizi ky’atakkirizaganyizza nakyo.

 

Yagambye nti tayinza kukkiriza ssente ze kukozesebwa mu nsonga ezitamutegeezeddwaako n’asalawo ezize zimuweebwe, akabondo akaveemu mu mirembe. 

 

Akabaga kaakoleddwa Ntuusi e Lwemiyaga nga kwetabiddwako abakungu ab’enjawulo n’abayimbi okusaggulira Rwashande akalulu, eyawangula kaadi ya NRM ng’amegga Ssekikubo okukiikirira ekitundu ekyo.

 

Ssentebe w’akabondo ka NRM mu Buganda, Robert Migadde (Buvuma) agamba nti okuyingira akabondo kwa kyeyagalire era ssente ze basala ku Ssekikubo, bulijjo zikozesebwa ku mikolo gy’ekibiina nti era akabondo si kibiina mwe batereka ensimbi nti w’oyagalira w’oziggyirayo nga bazikuwa.

Tags:
Ssente
Kupeeka
Ssekikubo
Theodre
NRM