Amawulire

Mmengo yakugaanyizza obuwumbi bubiri n'obukadde lwenda (2.9bn) okuva mu misinde gya Kabaka

MMENGO eyanjudde embalirira y'ensimbi ezaafunibwa okuva mu misinde gy'amazaalibwa ga Kabaka 2025 nga mwavaamu 2,924,894,000/-.   

Akulira eggwanika lya Buganda ow'ekitiibwa Waggwa Nsibirwa ng'annyonnyola
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

MMENGO eyanjudde embalirira y'ensimbi ezaafunibwa okuva mu misinde gy'amazaalibwa ga Kabaka 2025 nga mwavaamu 2,924,894,000/-.

Eno eyanjuddwa ku kyenkya ekyetaabiddwamu Bannamukago b’Obwakabaka nga Kibadde Bulange-Mmengo nga bano bebaali mu nteekateeka y'emisinde gino.

Katikkiro ng'ayogera

Katikkiro ng'ayogera

Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa yanjudde embalirira eno nga 2,400,000,000/- zaava mu mijoozi egyatundibwa, 214,584,000/- zaava mweezo ezaweebwayo kkampuni ez’enjawulo ate 310,310,000/- zaava mu bantu n’amakkampuni agawaayo ebintu ebikalu okuli empewo n’omwagaanya mu mikutu gy’amawulire.

“Ensimbi ezo zeyambisibwa okukolae ebintu bingi okuli 422,305,600/- ezaateekebwa mu kaweefube w’okukola obubaka obukunga abantu okwewala mukenenya, 861,653,408/- zeyambisibwa mu kukuba obulango n’okusasanya amawulire mu mikutu gy’amawulire. Ensimbi 1,203,801,344/- zeyambisibwa okutegeka emisomo, enkungaana, ebyoto n’ebirala ebituusa obubaka obukwata ku mukenenyi ku bantu butereevu,” Nsibirwa bwayogedde.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yasinzidde ku mukolo guno n'ateegeeza nga Kabaka bweyasiimye emisinde gyongere okutambulira ku mulamwa gw'okulwanyisa mukenenya okutuusa 2030 ensi lwerubirira okumalawo mukenenya.

Akulira eggwanika lya Buganda ow'ekitiibwa Waggwa Nsibirwa ng'annyonnyola

Akulira eggwanika lya Buganda ow'ekitiibwa Waggwa Nsibirwa ng'annyonnyola

Mayiga yakunze abantu okujjumbira okwekebeza okumanya bwebayimridde ate abaami n’abakunga okwetanira okukozesa enkola ezitasiiga baana bawala mukenenya.

Ye Ruth Ssenyonyi Akulira Uganda Aids Commission ekitongole Kya gavumenti ekirwanyisa mukenenya yeebazizza Obwakabaka olw'okukwatira ku gavumenti Okulwanyisa obulwadde buno nga kati obulwadde buli ku bitundu 7.5 ku buli 100.

Jotham Mubangizi nga yeyakikkiridde UNAIDS yatendereeza Obwakabaka olw’okukola embalirira ekikula kino kubanga eyongera Bannamukago amaanyi ate okuddamu okuwagira emirimu gy’okulwanyisa siriimu.

Nsibirwa yagambye nti emyaka etaano egiyise bukya Kabaka asiima okulwanyisa mukenenya kubeere omulamwa gw’okujjaguza amazaalibwaage, kaweefube ono avuddemu okukendeera kw’okukwatibwa mukenenya n’ebitundu 79 ku 100.

Tags: