ABASERIKALE b'ekitongole ky'amakomera abakozesa obubi emitimbagano ne bamala googera n'okwekolerako obusolosolo , baakukangavvulwa n'okuboonerezebwa.
Kino kiddiridde okunoonyereza okugenda mu maaso ku muserikale w'ekitongole kino, nnamba 17974 Lawrence Ampe , agambibwa okwekwata ku butambi bwa tiktok n'agenda ng'abusaasaanya ng'aliko by'ayogera.
Omwogezi w'ekitongole ky'amakomera mu ggwanga, Frank Baine, ategeezezza nti okusinziira ku kiragiro kya Uganda Prisons service, Standing Orders, Part one chapter 4, section 1, kitangira abaserikale okumala googera eri bannamawulire nga tebafunye lukusa.
Ayongeddeko nti okunoonyereza ku butambi obwo obuzze bukolebwa ku tiktok, kugenda mu maaso okuzuula ekituufu n'ekigendererwa.