KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II yayisizza Obuganda mu wiikendi n’ebbuggumu bweyasiimye okulabikako mu kisaawe e Nakivubo mu kuggalawo fayinolo y’empaka z’amasaza eyabadde wakati wa Ssingo ne Buweekula.
Kabaka ng'awuubira ku bantu
Yabadde nsitaano wakati wa baliraanwa ababiri era yagenze okukomekerezebwa nga Buweekula ewangudde Ssingo ku ggoolo 1-0 eyateebeddwa Alex Taremwa.
Kabaka Mutebi eyabaddeyakatonya okuva e Bungereza, yatuuse ku kisaawe kino ku ssaawa munaana n'eddakiika 26 n'ayanirizibwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, n'abakungu abalala abavunanyizibwa ku mpaka zino, abantu nebafa essanyu ng’agenda abawuubirako.
Kabaka Mutebi II asiimye n'akwasa essaza ly'e Buweekula Ekikopo ky'Amasaza 2025 nga kuno baawanguliddeko n’obukadde 12 be ddu!

Kabaka ng'akwasa aba Buweekula
Mayiga yasinzidde mu kwogerako ne Bannamawulire lw’omupiira guno okuggwa n’atenderezza empisa ezooleseddwa Ttiimu zonna ezeetabye mu mpaka n'asaba abatendesi bongere okulubirira okwogiwaza abateebi, ggoolo zeyongere.
Ye Minisita w'ebyemizannyo mu Buganda, Robert Sserwanga yeebazizza abantu abaggumidde enkuba n'embeera y'obudde embi okujja okuwagira Ttiimu zaabwe.

Abakungu ba Buganda
Ali Balunywa nga ye kitunzi wa Airtel abavujjirizi abakulu b'empaka zino alaze okwenyumiriza olw'ebbuggumu eryeyongera mu mpaka zino bwatyo neyeyama okugenda mu maaso n'okuwagira empaka zino.
Jimmy Kalema yeyakulembedde abateebi mu mpaka z’omwaka guno ne ggoolo musanvu era yakwasiddwa ekirabo ky'omuzaanyi asinze mu Mpaka z'omwaka guno.

Abantu abazze okulaba amasaza
Joel Byamukama ow’e Ssingo yasinze okukwata ggoolo, ate Pario Ogubezo owa Buweekula yabadde omuzanyi w'Olunaku nga bonna bawereddwa ebirabo okuva mu Centenary Bank ekikkiriddwa Immaculate Ngulume atwala eby'okutumbula bbanka eno.

Ssaabasajja Kabaka nga bw'afaanana kati
Calvin Pario nga ye Kapiteeni wa Buweekula ne Hajj Siraje Walusimbi Omukungu wa Buweekula balaze essanyu ly'okuwangula empaka zino omulundi ogusooka okuva empaka zino lwezatandikibwawo mu 2004.

Buwekula ng'ewanise ekikopo
Omupiira gwetabiddwako ebikonge okwabadde Omulangira David Kintu Wasajja, Omumbejja Nabanakulya, Baminisita ba Kabaka, abakungu bangi ddala nga Kyaggwe yekutte eky'okusatu ate Bugerere ekutte kyakuna.