Poliisi ya Jinja Rd mu Kampala, ekutte omusajja ku bigambibwa nti afumise munne ekiso n'amutta, bwe baafunye obutakkaanya.
Isabirye Sowedi Namuwongo 30 y'akwatiddwa ku bigambibwa nti, afumise Rogers Makoba ekiso n'amuttira mu bbaala.
Kitegeezeddwa nti bano bombi, babadde banywa omwenge mu zooni ya Pepsi mu Nakawa municipality mu Kampala, ne bafuna obutakaanya n'amufumita ebiso mu lubuto n'afa ng'atwalibwa mu ddwaaliro.
Ate mu Lusanja cell e Kiteezi Kansangati, omuwala akola mu bbaala amanyiddwa nga Mugisha, attiddwa bwe abadde anyuka ng'adda awaka nga bukya.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti, omusajja Kizza yesibye ku muwala ono nti bwe yamugaanyi n'amutta. Abantu babiri bakwatiddwa ku ttemu eryo.
Ate Namugongo, omwana omulongo ow'emyaka 12 afiiridde mu kidiba ku Grace Restaurant gye baabadde bagenze.