Amawulire

Poliisi ekutte mmotoka eyabadde ebbiddwa abazigu e Kitukutwe ne ddereeva waayo

ABAZIGU ababadde n’ebijambiya wamu n’ensuululu  bayingiridde amaka g’omutuuze e Kitukutwe mu Kira ne babba ebintu omubadde n’emmotoka wabula poliisi n’ebagoba n’egibasuuza n’omu n’emukwata.

Poliisi ekutte mmotoka eyabadde ebbiddwa abazigu e Kitukutwe ne ddereeva waayo
By: Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

ABAZIGU ababadde n’ebijambiya wamu n’ensuululu  bayingiridde amaka g’omutuuze e Kitukutwe mu Kira ne babba ebintu omubadde n’emmotoka wabula poliisi n’ebagoba n’egibasuuza n’omu n’emukwata.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Lwomukaaga  nga April 4, 2026 ku ssaawa 10:00 nga bukya abazigu bwe baayingiridde amaka g’omutuuze e Kitukukwe ne babba ebintu  ne babulawo nabyo wabula poliisi n’ebalondoola ne bakwatako omu.

Mmotoka eyabadde ebbiddwa.

Mmotoka eyabadde ebbiddwa.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti abaserikale ku poliisi e Kira baafunye mangu amawulire nga abazigu baakagenda ne babawondera era ne bagoba mmotoka eyabadde ebbiddwa.

Yagambye abazigu bano babadde babbye mmotoka nnamba UBN 155V Toyota IST era nga eno abaserikale gye balondodde ne bagikwatira e Lugazi n’okukwata eyabadde agivuga nga ye Shafik Mugerwa n’ekomezebwawo ku poliisi e Kira.

Mugerwa bw'afaana eyakwatiddwa ng'avuga mmotoka egambibwa okuba enzibe.

Mugerwa bw'afaana eyakwatiddwa ng'avuga mmotoka egambibwa okuba enzibe.

Kawala yategeezezza nti Mugerwa agenda kuyambako ku poliisi okukoonyereza okuzuula banne bwe babadde mu Kabinja akaayingiridde amaka ne babba era nga kirabika balina emisango gy’ekikula kino gye babadde beenyigiramu

Okukwata ababbi bano kiddiridde obumenyi bw’amateeka obubadde bususse mu bitundu by’e Kira omuli n’kabinja akabadde kabbissa emmundu

Tags:
Amawulire
Mmotkoa
IST