Poliisi ekutte Lujja Bbosa Tabula, gw'ebadde yateekako obukadde 20, ng'emuyigga ku by'okutta Lwomwa.
POLIISI ya Uganda erangiridde nga bw'ekutte omusajja Lujja Bbosa Tabula, agambibwa okubeera omutwe omukulu mu kutemulwa kw'eyali omukulu w'ekika ky'Endiga, Lwomwa -Eng Daniel Bbosa.
Ettemu omwafiira Eng. Bbosa lyaliwo nga February 25, 2024 ku kyalo Lungujja mu diviizoni y'e Lubaga mu Kampala abaseddeekezi abaali ku ppikippiki bwe baamusindirira ebyasi bwe yali avuga emmotoka ye ng'anaatera okutuuka ku maka ge.
Tabula bw'afaanana.
Kyokka ng'enjogera bw'egamba nti omuntu teyeefiira, abatuuze b'omu kitundu baazingiza abatemu bano omu ne bamukuba ensambaggere, ebibulooka n'amayinja ebyamuttirawo, ate omulala poliisi n'emubakwakkulako nga bamugajambula n'asimattukira awatono okufa.
Okuva olwo poliisi ebadde eyigga Tabula Lujja oluvannyuma lw'okukizuula nti ye yali emabega w'olukwe olw'okutta Lwomwa kyokka n'abula.
Okumanya abadde yeetaagibwa, poliisi yasooka kumussaako obukadde bw'ezaakuno 10 eri yenna amanyi amayitire ge, kyokka ne wabula amuleeta olwo n'eyongeza okutuuka ku bukadde 20.
Mu kiseera ekyo waliwo abantu abawerako abaakwatibwa ne basimbibwa mu kkooti ku nsnga y'emu omuli: Noah Lujja, Harriet Nakiguli, Joseph Nakabale ne Ezra Mayanja kyokka nga Tabula agambibwa okuba omutwe omukulu talabikako.
Omwogezi was poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke akawungeezi ka Mmande eno nga August 19, 2024 ategeezezza Bukedde nti Tabula bamukukunudde mu bitundu by'e Kimerika-Namulonge, Busukuma gy'abadde yeekukuma nga kati ali mu mikono gyabwe.
Tabula era abadde anoonyezebwa ku misango egy'obuwanga bw'abantu obwakukunuddwa mu ligambibwa okuba essabo lye mu July w'omwaka guno mu bitundu by'e Mpigi.