Abantu babiri abagambibwa okuwamba bannansi b'eggwanga lya Pakistan babiri ne basaba ab'enganda zaabwe obukadde 20, poliisi ebakutte.
Bino, bibadde ku kyalo Mabanda mu muluka gwa Piida e Luweero, abazigu bana nga batambulira mu mmotoka nnamba UAM 180R Premio, bwe bawambye Abaasi Ali ne Rashid Ahmed nga bakozi ba Lucky Sajid musingansimbi Omupakistan.
Kigambibwa nti bwe baabawambye okuva e Luweero, baabavuze okutuuka ku Kansagati Matugga Road, ne batandika okubakanda ssente.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango agambye nti Flying squad ng'eri wamu ne poliisi e Matugga basobodde okukwatako babiri, abalala ne badduka era abawambe ne babanunula. Okubuuliriza kuli mu jjiya.