Amawulire

Poliisi ekutte abantu abalala 14 mu kikwekweto ky'okuzuula abatta kaputeeni wa Villa

Poliisi yasoose kukwata abantu bana n'essimu egambibwa okuba ey’omugenzi iPhone 14 Pro Max ne bagizuula mu Usafi Taxi Park okumpi n'akatale ka USAFI mu Kampala.

Poliisi ekutte abantu abalala 14 mu kikwekweto ky'okuzuula abatta kaputeeni wa Villa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu abalala 14 bakwatiddwa mu kikwekweto ky'okuyigga abaakuba kaputeeni wa Sports Club Villa David Owor ppeeva, n'afiira mu Case Clinic, wiiki ewedde.

Poliisi yasoose kukwata abantu bana n'essimu egambibwa okuba ey’omugenzi iPhone 14 Pro Max ne bagizuula mu Usafi Taxi Park okumpi n'akatale ka USAFI mu Kampala.

Ezimu ku ngatto ezigambibwa okuba eza Owor ze baamusanze nazo.

Ezimu ku ngatto ezigambibwa okuba eza Owor ze baamusanze nazo.

Ku baakwatiddwa kuliko basatu abagambibwa okugula essimu enzibe, bataano abagambibwa okwenyigira mu kutemula omugenzi, ate abalala 9 bagambibwa okukolagana ne bano, mu kibinja ekibba, okutulugunya n'okutemula abantu.

Mu kubakunya , kigambibwa nti omu ku bo akkiriza nga bwe bazze bakola ennumba ez'enjawulo ku bantu n'okubabba nga bakozesa bbulooka ne ppeeva.

Kitegeezeddwa nti ku olwo, nga bali mu kibinja ( eggaali), baatigomya abasuubuzi n'abatuuze b'e Nsambya Nabisaalu, Kirombe ne Makindye era ekiro ekyo nti lwe baakuba Owor ne bamubbako essimu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti mu kwaza abaakwate gye basula e Ggangu ne Kasubi, baazudde ebizibiti ebiwerako, pikipiki emu, akakepe ka ttiyaggaasi, engatto eziriko omusaayi era ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Poliisi
Kukwata
Villa
Bantu
Kuzuula
Balala