EBINTU ebibalirwa mu bukadde bw'ensimbi, bitokomokedde mu muliro ogukutte ebbaala e Kiwatule mu Nakawa.
Gubadde ku Lagatos Bar eri mu zzooni ya Kazinga e Kiwatule mu Kampala era nga kigambibwa nti gukutte ku ssaawa nga 8:00 mu ttuntu ng'abazinyamooto, basobodde okuguzikiriza amangu.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti guvudde ku babadde bookya ebyuma nga baddaabiriza ekifo ekyo, era ng'okunoonyereza kukyagenda mu maaso.
Owoyesigyire agasseeko nti tewali muntu afudde wadde alumiziddwa mu muliro era n'asaba abantu okwongera okubeera abeegendereza naddala awali ebintu ebiyinza okuvaako omuliro.