Amawulire

Embwa ya poliisi ezudde emmwaanyi z'omugagga ezigambibwa okubbibwa omutuuze e Iganga

Embwa ya poliisi e Iganga, ezudde ensawo z'emmwaanyi embisi bbiri, ezibadde zibbiddwa okuva mu nnimiro y'omugagga.

Embwa ya poliisi ezudde emmwaanyi z'omugagga ezigambibwa okubbibwa omutuuze e Iganga
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Embwa ya poliisi e Iganga, ezudde ensawo z'emmwaanyi embisi bbiri, ezibadde zibbiddwa okuva mu nnimiro y'omugagga.

Poliisi e Iganga eri mu kuyigga omutuuze Adam agambibwa okubba emmwanyi zino , ze yawuludde okuva mu nnimiro y'omutuuze bwe baazisanze ng'azikukulidde emabega w'oluggi mu nnyumba.

Ensawo z'emmwaanyi ezaazuuliddwa.

Ensawo z'emmwaanyi ezaazuuliddwa.

Bibadde ku kyalo Walugoma mu muluka gw'e Nawaniyingi e Iganga , ababbi bwe baalumbye ennimiro ya Moses Lwukyaza ne banogamu emmwanyi ne bakuuliita nazo .

Omusango gw'okubba, gugguddwawo ku poliisi Bunyiro era abaserikale ne batwala embwa, esobodde okulondoola n'eyita mu kabuga k'e Walugoma okutuuka ku nnyumba ya Adam awagambibwa nti mwe bazisanze mmita nga 800 okuva awali ennimiro.

Abaserikale n'embwa eyazudde emmwanyi mu nju y'omutuuze.

Abaserikale n'embwa eyazudde emmwanyi mu nju y'omutuuze.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti baasanzeeyo ensawo bbiri n'ekitundu era nga bakolagana n'abqaakakiiko ka LC1 mu kitundu, bali mu kuyigga Adam avunaanibwe okubba.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Poliisi
Mbwa
Kuzuula
Kubba