ENTIISA ebuutikidde ekyalo Kimbejja ekisangibwa e Buddo mu Town Council y’e Kyengera ffamire y’abantu 4 bw’eweereddwa obutwa omu n’afiirawo abalala ne baddusibwa e Mulago nga biwalattaka.

Ennyumba mwe baabasanze nga babuyaana
Eyafudde ye Marvin Mutonzi 7 ate abaasimattuse kuliko maama, Florence Nalubinga, Martin Muganga n’omulala ataategeerekese mannya wabula nga we babatwalidde nga baliko kikuba mukono.
Gorrete Nambaziira, omusomesa ku ssomero lya Buddo Hill abaana ba Nalubinga gye babadde basomera yategeezezza nti bulijjo abaana babadde bakeera okujja ku ssomero nti wabula ku mulundi guno yabalinze nga tabalaba kwe kusalawo akubire nnyaabwe kuba baabadde balina okukola ebigezo ate ng’alaba obudde bugenze nti wabula kyamukanze essimu bwe yakwatiddwa naye ng’awulira kwaziraana.

Abatuuze nga bawuniikiridde olw'ekyatuuse ku munnaabwe.
Nambaziira agamba nti bweyawulidde embeera eyo yayanguye mangu okutuuka mu maka gano nti era nga yasanze oluggi luggule nti naye ng’omwana omu yafudde dda ate abalala nga basesema olwo nga ne maama waabwe yeenyoola.
Sentebe, Eddy Sseggane yategeezezza nti baamukubidde essimu ku ssaawa 10:00 ez’oku makya nti omutuuze we n’abaana baweereddwa obutwa n’akwatagana ne poliisi y’e Buddo wamu n’eya Naggalabi kyokka baagenze okutuuka ng’omwana omu amaze okufa.

Kabangali ya poliisi eyazze okukima omulambo.
Joseph Kalyango,omu ku batuuze yategeezezza nti omukyala ono abadde akolera mu katale k’e Nakasero gy’atunda ebijanjaalo nti era nga abadde akeera n’agenda ku mirimu gye nti naye nabo beewunyizza eyakoze ekikolwa kino kye yabalanze.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yategeezezza nti baatandise dda okunoonyereza ku kintu ekituufu ekyaweereddwa ffamire eno ekyavuddeko n’omu okufa.
Oluvannyuma omulambo gw’omwana eyafudde gwateekeddwa ku kabangali ya poliisi ne gutwalibwa e Mulago okwongera okwekebejjebwa.