Amawulire

Omusajja asse kizibwe we abadde amulumiriza okusobya ku bbujje eritanneetuuka!

Bibadde mu Nyende Trading centre mu muluka gw’e Ulukusi mu ggombolola y'e Mabono mu disitulikiti y'e Bududa.

Omusajja asse kizibwe we abadde amulumiriza okusobya ku bbujje eritanneetuuka!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omusajja avudde mu mbeera n'atema kizibwe we ku nsingo n'amutta, ng'agezaako okubuza obujulizi bw'okusobya ku mwana, atanneetuuka.

 

Bibadde mu Nyende Trading centre mu muluka gw’e Ulukusi mu ggombolola y'e Mabono mu disitulikiti y'e Bududa.

 

Attiddwa ye Moses Joseph Wakooba 44 ng'abadde mutuuze w'e Lulayi mu ggombolola ya Mabona era nga baludde nga balina obutakkaanya ne kizibwe we Fred Wamaniala gwe balumiriza okuba mu lukwe.

 

Kitegeezeddwa nti omugenzi abadde alumiriza Wamaniala okusobya ku mwana atanneetuuka era nga buli omu nga yeewerera munne okumutta.

 

Kigambibwa nti ensonga zino ssentebe wa LC1 Asad Mubiita  yaziyingiramu era n'agezaako okubatabaganya ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

 

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti Wamanial ng'ali ne Micheal Musene ne Julius Wakooba. Kigambibwa nti baazingizza Joseph ne bamutema ekiso ku nsingo n'afa ne babulawo era nga mu kiseera kino, babayigga.

Tags:
Amawulire
Bbujje
Kizibwe
Kulumiriza
Musajja