Ssemaka agambibwa nti aludde ng'atulugunya mukyala we omuli n'okumukuba, naye abatuuze bamukakkanyeeko ne bamukuba ne bamutta.
James Mwebe 53 omutuuze w'e Kirugu mu ggombolola y'e Kichwamba e Rubirizi, y’agambibwa okuttibwa mukazi we n'abatuuze.
Poliisi ekutte mukazi we Stella Namusoke eyambeko mu kuzuula abasse omugenzi n'okubannyonnyola ebyabaddewo.
Kigambibwa nti bano bombi, baafunye obutakkaanya ne batandika okulwana, ekyawalirizza abamu ku batuuze okwegatta ku mukyala ne bakuba Mwebe nti n'atwalibwa mu ddwaaliro lya Kyenzaza Health Center III gye yafiiridde.
Omwogezi wa poliisi mu greater Bushenyi, Apollo Tayebwa, avumiridde ebikolwa by'okutwalira amateeka mu ngalo n'agattako nti bayigga bonna abali emabaga w'ettemu lino.