ABANTU basatu abagambibwa okubeera mu kibinja ekisima amayumba g'abatuuze ne babbamu pikipiki zaabwe, bakwatiddwa poliisi e Kassanda.
Kino kiddiridde okusima garagi y'omutuuze Benedicto Sentamu 50, ow'e Kawungera mu Ggombolola y'e Kiganda e Kassanda, ne babba pikipiki bbiri okuli nnamba UGE 680G ne UMA 661LZ Bajaji boxer ne bagenda nazo.
Nga poliisi yeeyambisa CCTV kkamera , pikipiki zino, zaalabiddwako e Kyengera T/C e Nsangi mu Wakiso.
Abantu basatu abaakwatiddwa, kuliko James Sebuggwawo 50 ow'e Nakiganda mu muluka gw'e Kyamusota mu ggombolola y'e Kiganda , Edward Kavuma 31 nga w'e Kiyunga e Mukono, ne Yawe Musisi 32 muvuzi wa bodaboda ng'abeera Nsangi .
Omwogezi wa poliisi mu Wamala , Lameck Kigozi, alabudde abazzi b'emisango, obuteeyibaala nti kuba kkamera weeziri n'obukugu obulala obusobola okweyambisibwa okubakwata.