EBIMU ku bintu by'abayizi, bitokomokedde mu muliro ogukutte ekisulo ky'essomero e Kassanda.
Omuliro, gukutte ekisulo ky'essomero lya Kaka Memorial P/S mu zzooni ya Kaka mu ggombolola y'e Kiganda mu disitulikiti y'e Kassanda era ne gwonoona ebintu by'abayizi.
Abayizi, abasomesa n'abatuuze , bakoze kyonna ekisoboka okuguzikiza era nga tewali muntu yenna afiiriddemu wadde okukosebwa, okuggyako ebintu omuli engoye, ebitabo, n'ebikozesebwa ebirala ebitokomokedde mu muliro ogwo.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, ategeezezza nti okunoonyereza ku kivuddeko omuliro n'okumanya omuwendo gw'ebyo ebyonooneddwa, kugenda mu maaso.