Amawulire

Poliisi ekutte 10 abagambibwa okubba ente e Kiboga ne bazibaagira e Kassanda

Abantu basatu abagambibwa okubba ente 10 okuva e Kiboga, babakwatidde Kassanda n'ezimu ku nte wamu n'ennyama embaage.

Poliisi ekutte 10 abagambibwa okubba ente e Kiboga ne bazibaagira e Kassanda
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu basatu abagambibwa okubba ente 10 okuva e Kiboga, babakwatidde Kassanda n'ezimu ku nte wamu n'ennyama embaage.

Kino kiddiridde ababbi okulumba ekiraalo kya James Bwana ku kyalo Bugabo mu ggombolola y'eddwaniro e Kiboga, ne babba ente 10 ne bazitikka ne babulawo.

Kigambibwa nti bambega babalinnye akagere ne babakwatira ku kyalo Kamando e Bukuya e Kassanda n'ente ssatu wamu n'endala bbiri embaage era ne batwalibwa ku poliisi e Bukuya.

Abakwatiddwa, kuliko John Ssebiranda 24 , Andrew Ggita, ne Amos Byamukama 24. Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti oyo yenna atambuza, abaaga, agula n'eyeenyigira mu kubba ebisolo ,abeera n'omusango era waakukangavvulwa.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Kiboga
Kassanda
Kukwata
Bantu