ABANTU abatannamanyika, bamenye sitoowa z'ekkolero ne banyagamu ebyuma ebibalirirwamu obukadde 21.
Obunyazi, bubadde Lubumba LC1 mu ggombolola y'e Myanzi e Kassanda, ababbi bwe bamenye ekkolero ly'Abachina erya Musana Plywood Factory ne babba Water ppampu ssatu, Grinding machine, Drilling machine ne Compressor n'ebirala, ne babulawo.
Byonna ebibbiddwa, bibalirirwamu obukadde 21 n’emitwalo 30 era nga bayambibwako maneja w'ekifo , Solomon Baba, poliisi etutte embwa, n'ezuula ebintu byonna ebyabadde bibbiddwa nga bisuuliddwa ku kyalo ekiddako e Katooke.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti bakutte Charles Opio ne George Atuhaire abaaliko abakozi mu kkolero eryo , bayambeko mu kunoonyereza.
Agasseeko nti bano bategeezezza poliisi nti baabadde bataano era ebibbe , baabiterese mu maka ga Musiraamu e Katooke . Poliisi ekutte omulala Rama omukozi mu kifo ekyo era ng'abalala babiri, nabo , babayigga.