Dereeva wa baasi afudde n'abasaabaze abalala 17 ne batuusibwako ebisago mu kabenje akagudde e Kiryandongo leero ku makya.
Kidiridde dereeva wa baasi nnamba UAR 339M eya kampuni ya Makoma Bus company okutomera enjovu ezibadde zisala ekkubo mu kifo ekimanyiddwa nga Ggwanga Three ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu.
Kaguddewo ku saawa nga Munaana nga bukya keeri era n'emu ku njovu, ekutuse okugulu.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, agambye nti dereeva basoose kumutwalako mu ddwaaliro e Kiryandongo gy'afiiridde ate nga bbo abasaabaze abamu batwaliddwa mu ddwaaliro e Karuma ne Kiryandongo okufuna obujanjabi.
Ayongeddeko nti akabenje k'aliba nga kavudde ku ndiima.