Omuyizi w'essomero agambibwa okufumita muyizi munne ekiso n'amutta poliisi emukutte.
Akram Karioki 19 omuyizi mu ssomero lya Mbale High School e Mbale, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti ng'ali ne banne abalala, yafumita ekiso Shafik Wasike eyali mu siniya 4 mu ssomero ly'erimu , n'amutta bwe yala ava ku ssomero ng'adda eka nga July 28 omwaka guno okumpi ne Amber store Industria Area e Mbale.
Okuva olwo, kigambibwa nti Akram abadde yadduka nga yekwese era nga bamukukunudde Nakwigalo cell mu Butalejja district era nga mu kiseera kino, akuumirwa ku poliisi e Mbale.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Roger Taitika, agambye nti omugenzi yasangibwa n'ekiwundu ekinene mu kifuba nga kirabika, bamufumita kiso.