Abantu 21 baddusiddwa mu ddwaliro oluvannyuma lw'ekkanisa mwebabade basabira okubagwiira

ABAGOBEREZI 21 batwaliddwa mu ddwaaliro nga bafunye ebiwundu eby'amaanyi, ekkanisa mwe babadde basabira bw'ebagwiridde  

Abantu 21 baddusiddwa mu ddwaliro oluvannyuma lw'ekkanisa mwebabade basabira okubagwiira
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ABAGOBEREZI 21 batwaliddwa mu ddwaaliro nga bafunye ebiwundu eby'amaanyi, ekkanisa mwe babadde basabira bw'ebagwiridde

Bino , bibadde ku kyalo Namutokholo mu muluka gw'e Bukokho mu disitulikiti y'e Namisindwa , ekkanisa y'Abalokole eya Laaso Spiritual Church  omubadde abagoberezi abasoba mu 100, bw'egudde wakati mu kusaba n'erumya abagoberezi.

Mu kiseera kino, omusumba w'ekannisa eno kigambibwa nti oluvannyuma lw'akabenje kano, adduse era nga poliisi emuyigga.

Omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika, ategeezezza nti, mulimu omwana omuto asinze okukosebwa , ekisenge bwe kimukubye oluba era ng'ali mu mbeera mbi ddala. Kisuubirwa nti enkuba etonnya ebiseera bino, yeyagiretedde okutendewalirwa.