Amawulire

POLIISI e Mubende eyigga ababbi ab'emmundu abafumbikirizza omusuubuzi ne bamunyagako obukadde 9

POLIISI e Mubende eyigga ababbi ab'emmundu abafumbikirizza omusuubuzi ne bamunyagako obukadde 9 , amasimu n'ebintu ebirala ebikozesebwa.

POLIISI e Mubende eyigga ababbi ab'emmundu abafumbikirizza omusuubuzi ne bamunyagako obukadde 9
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI e Mubende, eyigga ababbi ab'emmundu abafumbikirizza omusuubuzi ne bamunyagako obukadde 9 , amasimu n'ebintu ebirala ebikozesebwa.

Obunyazi bubadde kumpi ne Brac bank e Kasambye B mu disitulikiti y'e  Mubende, ababbi babiri ababadde batambulira ku pikipiki , bwe bafumbikirizza omukozi ku mobile money era Banking agent, Vincent Talemwa 44 ne bamusala ekibatu.

Kigambibwa nti babadde bamukanda ensawo gy'abadde agaanidde ku ssaawa ng'emu n'ekitundu akawungeezi nti , kwe kukuba essasi mu bbanga ne bagimuggyako ne babulawo

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti mu nsawo, mubaddemu obukadde 9, ebuuma bwe yayambisa mu mulimu guno, essimu bbiri era ng'omusango guguddwawo ku poliisi y'e Kasambya ng'omuyiggo, gugenda mu maaso.

Tags: