Amawulire

Abayimbi bazize ekivvulu kya Julie Mutesasira e Canada

OMUYIMBI Julie Mutesasira kino kye kyabadde ekivvulu kye ekisookede ddala ku mawanga era yakituumye ‘An Evening With Julie.’ Julie oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya n’omwami we, yabomba ng’enjogera y’ennaku zino era amaze emyaka egiwera ku kyeyo

Julie Mutesasira ng’ayimba.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUYIMBI Julie Mutesasira kino kye kyabadde ekivvulu kye ekisookede ddala ku mawanga era yakituumye ‘An Evening With Julie.’ Julie oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya n’omwami we, yabomba ng’enjogera y’ennaku zino era amaze emyaka egiwera ku kyeyo.

Judith Babirye, Vivian Tendo n’abalala be bamu ku baabadde balina okumuyimbirako wabula baakanze kubalinda nga buteerere. Ekyasinze okuluma Julie, kwe kuba nti yakubisa ebipande n’okusaasaanya omusimbi oguwera ng’abalanga naye ne bamuyiwa ku ssaawa esembayo.
Mbu abamu ku bano beekwasizza emirimu emingi, ate abalala n’amasimu tebaatawaanye kugakwata. Bwe yakutte omuzindaalo, Julie yabakwasizza Yesu olwo n’ayita abaana be okugezaako okukuba

Tags: