UGANDA yeegasse ku nsi yonna okujaguza olunaku lwa makaddiyizo olumanyiddwa nga International Museums day 2026 era nga ebijaguzo bino bibadde mu Kibuga kye Jinja ku Rugby Grounds ku mulamwa ogugamba nti Museums Uniting the World.
Omukolo guno gwetabidwaako abakungu okuva mu gavumenti okuli Minister we byobulambuzi Hon Tom Butime , abaana b'amasomero , kwosa n'abakulembeze okuva mu Kibuga Jinja.

Abaana nga basanyusa abagenyi ku mukolo e Jinja
Minister we byobulambuzi Hon Tom Butime asoose kulambuzibwa mudaala gye byamakaddiyizo n'ebirala.
Ono agambye nti gavumenti ekoze kyamaanyi okuteeka ssente mu nsonga y'okukuuma amakaddiyizo nga ezimba ebifo ebipya wamu n'okuddabiriza ebikadiye okuli n'okudabiriza olubiri lwa Mugaba olusangibwa mu Ankole .
Ono agambye nti ekibuga kye Jinja kifo ekikunganya ebintu ebikwatagana ku makaddiyizi era nasaba okusigala nga bikuumibwa kwosa nokulongoosebwa bisobole okubeelawo .Ono asinzidde wano n'agamba eggwanga eligaana okukuuma abyafaayo
lifiiriza abaana abato n'olwekyo Uganda elina okukuuma ebyafaayo ate n'abato abakubirizza okubyenyigiramu .

Hon.Tom Butime nga yakatuuka e Jinja
Jackline Besigye Nyirakiza akulira amakaddiyizo mugwanga agambye nti kirungi nnyo okukuuma amakaddiyizo kubanga biyamba abantu okuba nebyafaayo kwosa nokubimanya .
Ono agambye nti amakaddiyizo gakuyamba nnyo okukuuma n'okutumbula ebyobulambuzi mu gwanga n'olwekyo birina okukuumibwa .
Agenze mu maaso nti singa ebyobulambuzi bikuumibwa namakadiyizo kyakuyamba abantu okufuna ensimbi okuva mubwaavu .
Assembyeyo nga agamba nti basobodde okuddabiriza amakaddiyizo manji.