Amawulire

Okufa kwa Moses Kaliisa Karangwa abadde ssentebe wa NRM e Kayunga kusannyalaza abatuuze

Amawulire g'okufa kwa ssentebe wa NRM e Kayunga Moses Kaliisa Karangwa ganyogozza Bannakayunga.

Moses Kaliisa Karangwa eyafude nga bwabadde afaanana
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Amawulire g'okufa kwa ssentebe wa NRM e Kayunga Moses Kaliisa Karangwa ganyogozza Bannakayunga.

Karangwa yafudde mu ttumbi mu kiro ekikeesezza Mande oluvanyuma lw'akakabenje akaaguddewo ku kyalo Ssukka ku luguudo oluva e Kayunga okudda e Njeru.

Karangwa era nga gyebuvuddekox yafuna ekifo mwakola nga Omuwabuzi wa Pulezidenti ku mirimu egy'enjawulo, yabadde atambulira mu mmotoka ye nnamba UG 01 01151 nga adda mu makaage e Jinja.

Akabenje kaaguddewo ku ssaawa bbiri ez'ekiro ku Sande.

Yaddusiddwa mu ddwaliro e Kayunga okufuna obujjanjabi obusooka n'oluvanyuma ne bamwongerayo e Nakasero gyeyafiiridde.

Abalala abaabadde mu mmotoka okuli ddereeva n'abasirikale ba UPDF babiri bonna baasimattuse

Tags: